Kitalo!
Kikakasiddwa nti abantu abasoba mu 30 bebafudde oluvannyuma lwe lyato kwebabadde basaabalira okubbira mu nnyanja Muttanzige ku Sande. Eryato lino lyabadde lisaabaza abasambi b’omupiira wamu n’abawagizi abasoba mu 50 okuva ku mwalo gw’e Fofo mu gombolola y’e Buseruka nga boolekedde omwalo gw’e Runga mu gombolola y’e Kigorobya mu Disitulikiti y’e Hoima okusamba omupiira gw’abakazi n’abasajja.
Aberabiddeko nagaabwe bagamba nti eryato lino eryabadde litisse akabindo lyabidde nga lyakasaabalako nga mita 300 nga lyakasimbula, olw’omuyaga omungi ogwabadde ku nnyanja kigambibwa nti omugoba walyo yagezezaako okulikyuusa adde gyava eryato neribbira nga badda.
Abavubi bagezezaako okutaasa era nga basobodde okutaasa abantu 20 nga kati bali mu malwaliro bajanjabibwa.