Abantu 4 bafiiridde mu kabenje enkya yaleero ku luguudo lwa Mbale – Tirinyi emotoka 3 bwezitomereganye. Omu ku bafiiriddewo ye Mulabi David abadde avuga Toyota Raum nnamba UAT 995A etomeddwa Takisi nnamba UBK 676W ebadde ewenyuuka obuweewo ng’eyisa emotoka endala nnamba UBH 437K. Okusinziira ku berabiddeko nagaabwe bagamba nti owa Takisi asoose kutomera ba booda booda nabobuggaali n’oluvannyuma natomera Raum ebadde eva e Tirinyi ng’eyolekera ekibuga Mbale.
Abantu 5 baddusiddwa mu Ddwaliro lya Mbale Regional Referral Hospital nga bali mu mbeera mbi nga n’abalala abawerako kirowoozebwa nti bagudde mu mugga Namatala nga tebanalabika. Akabenje kano kagudde ku lutindo lw’omugga Namatala.