Kitalo! abantu 5 bafiiridde mu kabenje ku kyalo Ongunai

Kitalo!
Abantu 5 bafiiriddewo mbulaga mu kabenje akagudde ku kyalo Ongunai mu sub county y’e Katine ku luguudo oluva e Soroti okudda e Lira motoka ekika kya Fuso nnamba UAY 033G eyabadde yetisse ttani za siminti 12 n’ebutungulu bweyatomereganye bwenyi ku bwenyi ne tuleera y’amafuta nnamba ZC 5773 / KBH 126X eyabadde edda e Kampala.
Ba ddereeva b’emotoka zombi bafiiriddewo wamu ne ba ttani bboyi baabwe wamu n’omuntu omulala omu eyabadde atambulira mu tuleera wabula nga ebibakwatako tebinamanyika.
Michael Odongo, nga ye mwogezi wa Poliisi mu tundutundu lya East Kyoga agamba nti abantu babiri abalumiziddwa nga bano babadde mu tuleera baddusiddwa mu ddwaliro lya Soroti regional referral hospital okufuna obujanjabi.

Leave a Reply