Kitalo!
Abantu 5 bafiiridde mu kabenje enkya yaleero nga 26-Dec akagudde mu kisenyi ky’e Kibukuta ku luguudo lwa Kampala – Masaka. Akabenje kabaddemu emotoka okuli Toyota Haice (Drone) nnamba UBM 489B ne Mercedes Benz nnamba UAM 445B nga zombi zibadde ziva Kampala okudda e Masaka. Abafudde kuliko abakyala 3 nabasajja 2 nga bonna babadde basaabaze mu drone. Bbo abalala 5 nga bonna babadde mu Benz baddusiddwa mu Ddwaliro ly’e Nkozi okufuna obujanjabi.