Kitalo!
Abantu 5 bafiiridde mu muliro ogukutte ennyumba mwebasula mu kiro ekikeesezza olwaleero ku ssaawa nga 8 nga bebasse. Ekikangabwa kino kigudde ku kyalo Yoka, e Bukasa mu Kampala Ssemaka, Steven Luyomba 50, mukyala we Doreen Nafula 35, wamu n’abaana baabwe 3 okuli ow’emyaka 15, 16 n’omulala omu. Kigambibwa nti omuliro ogukutte ennyumba mwebabadde basula guvudde ku musubbaawa ogwalekeddwa nga gwaka.