Kitalo!
Abantu 7 bakakasiddwa okuba nga bafiiridde mu kabenje n’abalala nebabuuka n’ebisago oluvanyuma lw’emotoka ekika kya FUSO nnamba UAX 226U okuggwa mu Disitulikiti y’e Bukomansimbi ettuntu lyaleero.
Okusinziira ku berabiddeko nagaabwe bagamba nti Ddereeva wa Fuso abadde avugisa kimama ngebadde etisse abantu nga 20 nga babadde bava mu Nnyendo mu Disitulikiti y’e Masaka nemulemerera okukkakana nga atomedde ebyuuma ku kyalo Kanoni, Butenga Sub County mu Disitulikiti y’e Bukomansimbi.
Kigambibwa nti bano babadde bagenda mu katale e Bukomansimbi.
Abamu ku bantu ababadde ku FUSO eno bakutuseeko emikono ate abalala amagulu era baddusiddwa mu Ddwaliro lya Villa Maria okufuna obujanjabi.