Kitalo! Abayizi 2 bafiiridde mu muliro ogukutte ekisulo ky’essomero e Masaka

Ab’obuyinza bakakasizza nti abayizi okuli; Malik Katende ne Aloysius Katende bebafiiridde mu muliro ogukutte ekisulo ky’abalenzi eky’essomero lya Kasana Junior School mu Kibuga Masaka mu kiro ekikeesezza olweero ku ssaawa nga kumi ezookumakya ogulese metulooni n’abayizi 11 nga bataawa.
Amyuka omuduumizi wa Uganda Police Force mu bitundu by’e Masaka, Jamada Wandera ategeezezza nti omuliro guno guvudde ku masannyalaze era asambazze ebibadde bitandise okubuungesebwa nti waliwo ab’emitima emibi ababadde emabega w’ekikolwa eno.
Leave a Reply