Kitalo! Abayizi 3 bafiiriddewo mbulaga oluvannyuma lwa Sino Truck okuyingirira essomero

Kitalo!
Kikakasiddwa nti abayizi 3 ku ssomero lya Kasaka Secondary School bebafiirirddewo oluvannyuma lwa loole ekika kya Sino Truck nnamba UBL 790J okulemerera omugoba waayo netomera ekikomera ky’essomero olwo neyolekera Computer Lab nerumya n’abalala 18.
Abayizi abafudde kuliko; Evelyn Namagembe S.5, Mawanda Bosco S2, ne Asege Hilda S4. Ddereeva wa loole eno ategeerekese nga ye Wanume Abudala emyaka 26 akwatiddwa.
Leave a Reply