Kitalo! babiri bafiiridde mu kabenje e mbale

Abantu babiri bafiiridde mu kabenje ate n’abalala 3 nebalumizibwa byansusso emotoka ekika kya Toyota Noah nnamba UAW 739B bwetomereganye ne Piki Piki ekika kya Bajaj Boxer nnamba UEK 532L ku luguudo Gangama nga ovudde ku luguudo oluva e Kumi okudda e Soroti e Mbale.
Noah nga eno ebadde etisse abantu 10 ebadde edda Mbale mu ttawuni nga eva e Budadiri mu Disitulikiti y’e Sironko yetomedde omugoba wa Boda Boda abadde akola U-Turn mukubo wakati nga abadde yeyuna okutikka omusaabaze abadde ebusukka kkubo era nga ono afiiriddewo wamu ne Conductor wa Taxi etegeerekeseeko erya Hakim.
Leave a Reply