Kitalo!
Eyaliko emunyeenye y’Eggwanga ku ttiimu y’Eggwanga eyomupiira ogwebigere Uganda Cranes Baker Kasigwa avudde mu bulamu bw’Ensi ngafiiridde mu maka ge e Kisalizi mu Disitulikiti ye Masindi. Kasigwa ye musambi yekka abadde akyali omulamu ku ttiimu ya Uganda eyagenda mu Bungereza okusamba omupiira mu 1956.
Yali ne ku ttiimubeyetaba mu Africa Cup of Nations owa 1962.