Kitalo! Basse mwannyina wa Kasirye Ggwanga

Kitalo!
Poliisi mu Disitulikiti y’e Kassanda olunaku lw’eggulo yazudde omulambo gwa Irene Najjita 60, mwannyina wa Maj. Gen. Kasirye Ggwanga nga ono abadde yabula wiiki 2 eziyise.
Omwogezi wa Poliisi mu ttundutundu ly’e Wamala Norbert Ochom agamba nti omulambo gwa Najjita gwasangiddwa mu kabuyonjo mu maka ge ku kyalo Kitalegerwa mu ggombolola y’e Nalutuntu. Poliisi egamba nti ab’Oluganda lwa Najjita bagenda ku Poliisi y’e Kakungube nebawaaba omusango era Poliisi netandikirawo omuyiggo.
Omulambo gwa Najjita gwasangiddwa mu kabuyonjo awaka wabadde abeera nga kabuyonjo ejjudde evvu. Kigambibwa nti wabaddewo omuntu aliyiwamu okusobola okubuza obujulizi.
Ochomo agamba nti batemezeddwako ab’omuliraano oluvannyuma lw’okuwulira ekivundu ekyabadde kiva mu kabuyonjo eri mu maka ge eri Poliisi bweyatuuse mu kifo kino yazudde omulambo ogwabadde gutandise okuvunda bwetyo negukwasa ab’enganda baguziike.

Leave a Reply