Kitalo!
Abantu 4 bebakakasiddwa okuba nga baafudde oluvannyuma lw’ettabi ku muti ogwebyafaayo oguyitibwa Nakayima ogusangibwa ku lusozi Bbooma okuwaguka nerikuna abantu abasoba mu 10.
Kigambibwa nti enjega eno yaguddewo lunaku lweggulo ku ssaawa nga 12 ezokumakya, ngabakoseddwa bebamu ku bantu ababadde betegekera omukolo ogubadde gulina okubaawo olwaleero nga basiima Maama Nakayima. Abebyobuwangwa ku lusozi Bbooma bategeezezza nti Nakayima si musanyufubera nga nino byabadde byalagulwa dda.