Kitalo!
Eyaliko Executive Secretary w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu Ggwanga David Livingstone Ongom yafudde olunaku lw’eggulo mu ddwaliro lya Nakasero Hospital gyabadde ajanjabirwa nga abadde mu Intensive Care Unit.
Yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Lira nga 20 – June – 1937 era nga yasomera mu masomero ga pulayimale agawerako mu Lira n’e Gulu. Mu 1957, yegatta ku Sir Samuel Baker School mu Gulu gyeyasomera O-level, nayita amasomo ga Science.
Yeyogerayo mu Royal Technical College e Nairobi gyeyasomera Okubala ne Physics ku A’level ku sikaala ya Ford Foundation, nasoma nayita nagenda mu University of Nairobi mu 1964 gyeyasomera okubala, Physics ne Geology.
Yafuluma nga Geophysicist mu 1967 bwatyo neyegatta ku Department of Geological Surveys Entebbe. Yegatta ku Ssetendekero wa Makerere nasoma Postgraduate diploma mu Busomesa nattikirwa mu 1968.
Mu 1970 yatandika okusomesa Physics mu Lango College okutuusa mu 1970, bwatyo natwalinwa mu National Teachers’ College (NTC) e Kyambogo nga Lecturer wa Physics. Mu January 1973 Ongom yafuulibwa Deputy Director wa National Teachers’ College (NTC) e Kyambogo.
Yafuulibwa Regional chief Examiner wa Physics mu East African Examinations Council (EAEC). Mu 1976 yafuulibwa Deputy secretary in charge of examinations and research East African Examinations Council (EAEC).
Bwatyo yagenda mu buwanganguse ku mulembe gwa Amin naddukira e Nairobi natandika okusomesa ku Pangani Girls School. Amin bweyawambibwa Ongom yakomawo mu Yuganda mu December 1979.
Ongom was only able to return to his old job in December 1979, after the fall of Idi Amin.
Mu 1984, eyali Executive Secretary Eriaku bweyafa Ongom yalondebwa agira akola nga Executive Secretary okutuuka mu 1989 omulimu guno bwegwalangibwa nagusaba nebagumuwa.
Ongomu yagobwa mu kifo kino mu 1995 oluvannyuma lw’ebigezo okubibbwa mu Disitulikiti y’e Mukono, Mpigi, Masaka ne Kampala. Eyali omumyuka we Cele yeyamuddira mu bigere wabula teyabugumya na mbooge Minisitule evunaanyizibwa ku by’enjigiriza ne londa Mathew Bukenya eyali awumudde ogw’obubazi bw’ebitabo.