Kitalo!
Eyaliko Pulezidenti wa Egypt Mohamed Morsi 67, yafudde olunaku lw’eggulo mu Ddwaliro lya Cairo hospital oluvannyuma lw’okuzirikira mu Kkooti bweyabadde asomerwa emisango egimuvunaanibwa.
Kigambibwa nti yabadde ayanukula omulamuzi nga yakamala eddakiika 20 naggwaamu amaanyi nazirika. Yaddusiddwa mu ddwaliro gyeyafiiridde oluvannyuma.
Ono yalondebwa mu kalulu ng’omukulembeze wabula n’amala omwaka gumu gwokka era mu 2011 yafuna okuwakanyizibwa okw’amaanyi era mu 2013 nagibwako mu bwegugungo obwaliwo.
Ono abadde mu kkomera nga gyava nawoza nga avunaanibwa emisango omuli okubega Iran, Qatar ne Hamas mu Gaza Strip, n’obutujju.
Okuva lweyawambibwa nga 3-July-2013, eyali Minisita we ow’ebyokwerinda nga kati ye Pulezidenti Abdel Fattah al-Sisi yatandika okuyigannya abawagizi ba Muslim Brotherhood nga bangi ku bbo bali mu makomera.