Kitalo! Kofi Atta Annan afudde

Eyaliko Ssaabawandiisi w’ekibiina ky’amawanga amagatte (United Nations) Kofi Annan avudde mu bulamu bw’ensi. Ono afudde olunka lwa leero oluvannyuma lw’okulwalira akabanga akatono.

Ono afiiridde mu Bern, Switzerland, ono abadde mufumbo nga eyasooka ye Titi Alakija (1965–1983) ne Nane Maria Lagergren (1984–2018) era nga alese abaana basatu Kojo, Ama ne Nina.

Kofi Atta Anna 80, nga nzaalwa ye Ghana yazaalibwa nga 8-April-1938 Comassie, Gold Coast nga kati emannyiddwa nga Kumasi, Ghana yaliko Ssaabawandiisi wa UN ow’omusanvu (7th) okuva January 1997 okutuuka December 2006. Y’abadde Ssentebe era omutandise wa Kofi Annan Foundation, era nga yabadde Ssentebe wa The Elders ekibiina ekyatandikibwawo Nelson Mandela. Yatandika okukola mu UN mu 1962 nga akolera World Health Organization.

Ono yafugira ebisanja bibiri nasikirwa Ban Ki-Moon mu January 2007 nga Ssaabawandiisi wa UN.

Pope Francis greets Kofi Annan, former secretary-general of the United Nations and leader of The Elders, during a private audience at the Vatican Nov. 6. (CNS photo/L’Osservatore Romano)

Leave a Reply