Kitalo! Omusawo wa KCCA afiiridde mu motoka ye

Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddyo ku musajja asangiddwa ng’afiiridde mu motoka ye; “Poliisi e Kanyanya olwaleero adduse bunnambiro oluvannyuma lwokutemezebwako nti Dr. Kamugisha Godfrey Mwesigwa nga musawo wa bisolo akolera Kampala Capital City Authority, ku Kyanja KCCA farm nti abadde afiiridde mu motoka ye.
Bino bibaddewo ku ssaawa munaana n’ekitundu okuliraana Akamwesi Shopping Mall gate.
Ttiimu ya Poliisi wetuukiddewo emusanze atudde mu mutto ggwe motoka ye ng’omutwe agutadde ku sitelengi nga tayanukula.
Addusiddwa mu Ddwaliro e Mulago, abasawo gyebabategeerezza nti afudde.”
Leave a Reply