Kitalo! Omusirikale wa FFU afiiridde mu kabenje e Mityana

Kitalo!
Omusirikale wa Uganda Police Force, okuva mu Field Force Unit IP Nelson Namanya afiiridde mu kabenje e Buswabulongo ku luguudo oluva e Mityana okudda e Mubende. Ono abadde akolera ku detach ya FFU e Kisita, mu Disitulikiti y’e Kassanda
Kigambibwa nti Namanya eyabadde atambulira ku piki piki nnamba UP8016 yatomedde lukululana nnamba UBJ394S/ UAD535Q eyabadde epakinze ku kubo. Okusinziira ku mwogezi wa Poliisi owettunduttundu lye Wamala agamba nti okufa kwono kwavudde ku bulagajjavu bwa ddereeva wa tuleela eyapankize obubi kukubo, era nasaba abagoba b’ebidduka okufuna reflector zebateeka ku nguudo okulaga nti emotoka efiiridde mu luguudo.
Bya Joseph Balukuddembe
#ffemmwemmweffe

Leave a Reply