Omuyima w'ekibiina ki Bodaboda 2010, Hajji Abdallah Kitatta ne banne 12 bwebavunaanibwa balabiseeko mu kkooti y'amagye e Makindye .
Bano bavunaanibwa emisango gy'okuba n'ebyokulwanyisa by'amagye mu ngeri emenya amateeka omuli Pistol bbiri n'amasi makumi asatu ag'emmundu ennene kika kya SMG era emisango nga gino bwegibakka mu vvi basibwa okutuusa lwebafa oba okuwanikibwa ku kalabba.
Ssabbiiti ewedde Military Unit Disciplinary Committee etuula ku kitebe ky'amagye ekya CMI e Mbuya yasindika omisango gino mu Kkooti y'ekinnanagye e Magye kubanga yeerina obuyinza obuwozesa emisango bwegiti
Wabula Kitatta ne banne beegaanye emisango gino mu kkooti etuulako abantu omusanvu nga bakulirwa Lt. General Andrew Gutti nga bagamba nti bo ssi baamagye okuvunaanibwa mu kkooti eno era bw'etyo n'ebasindika ku alimanda e Luzira okutuusa nga 27 Mukutulansanja omwaka guno .
Kitatta avunaanibwa ne ; Joel Kibirige, Matia Ssenfuka, Hassan Ssebatta, Jonathan Kayondo, Hassan Ssengooba, Ssande Ssemwogerere, John Ssebandeke, Hussein Mugerwa ne Fred Bwanika.