“Kitatta okalya dda kadda dda?” – Bobi Wine

Kkooti y’amaggye yasalidde eyali Omuyima wa Boda Boda 2010 Abdullah Kitatta ekibonerezo kyakusibwa emyaka 10! Okujjako nga ajulidde okujulira kwe nekukirizibwa, Kitatta wakumala emyaka 8, n’emyezi 8 nga atemeza mabega wamitayimbwa nga ogyeeko ebbanga ly’amaze ku alimanda.

Emyaka 2 egiyise Kitatta yali w’amaanyi nga ensi emutya, yalowooza nti yali muganzi eri abali mubukulembeze. Yali nantagambwako era nga takwatibwako, yatuluganya baganda be. Yewangamya ng’omuntu omuzibu ennyo eyavaayo okulwanyisa ab’oludda oluvuganya Gavumenti.

Yayambalira nga abo bonna abavangayo okwogera ku bikyamu ebiri mu ggwanga. Bannansi bawangalira mu kutya olw’okuba ye, yatulugunya abavuzi ba Boda boda nebawangalira mu kutya.

Akaseera katuuka nga emirimu gye tebakyagyetaaga, yakwatibwa nateekebwa mu kaduukulu k’amaggye e Makindye, bamugaana okweyimirirwa enfunda eziwerako, nebweyategeeza nti yali mulwadde. Mu mbeera eyo yamimwa eddembe lye. Olwaleero asaliddwa ekibonerezo kyabbanga eriwerako nga ali munkomyo olw’emisango gyeyazza nga agezaako okulwanirira Gavumenti y’emu. Nkakasa bulungi nti abo beyali agezaako okusanyusa bali mu luwumula kati!

Mu ngeri emu oyinza okwagala okumusaasira olw’okuba ayinza okuba nga yali ayogeza butamanya. Naye ate bwomala webuuza lwaki teyayigira ku balala abaali abakozeseddwa, Bannayuganda nebabakyaawa oluvannyuma nebabasuula.

Ndowooza Bannyinaze ne Baganda bange Bakitatta baleero mufunyeemu eky’okuyiga. Temukiriza kukozesebwa, Abaganda balugera nti; “Okalya dda kadda dda”
#Bangi_baaliwo_ngagwe_bwoliwo.
#Afande

Leave a Reply