Namboole awuumye akawungeezi ka leero nga Uganda Cranes emegga eya Togo ku ggoolo 3.0, mu kusunsulamu abaneetaba mu bibijja ebiyingira emipiira gy’ekikopo kyensi yonna.
Cranes kati Kitegeeza nti ekubye Togo ate ne ku bugenyi ku mugatte gwa goolo nnya ku zero.
Ggoolo za Cranes ziteebeddwa Geoffrey Maasa ne Farouk Mia ateebyeko bbiri.