Poliisi y’e Katwe ekutte Simon Musinguzi ne Daniel Kalyango lwakufera abantu abasoba mu 38 nga babagamba nti bagenda kufuna amagoba. Kigambibwa nti batandika Kkampuni ya Adsan Enterprises nga Kkampuni etunda obukoko obw’okulunda ku bbeeyi entono nga babasuubiza n’obutale nga obukoko bukuze.
Bano balimba abantu nti bafuna contract z’okuwa amakkampuni ag’enjawulo nga bagawa emmere enkalu wamu n’enkoko. Mu bitongole mbu byebaali bafunye kwaliko United Nations High Commissioner for Refugees (UNHCR) ne World Food Program (WFP).
Abantu bagamba nti mu ntandikwa bafuna ku ssente wabula abantu bwebawera nebikyankalana awo ssente zaabwe nababagamba nti bazitadde mu Crypto currency.
Kkampuni eno nga esangibwa ku kizimbe kya Muganzaliwaza Room SE6 mu Kampala yabba abantu ensimbi ezisoba mu 812 era neggalawo.