Omukulembeze w’Eggwanga Gen. Yoweri Kaguta Museveni alaze obwenyamivu eri Kkampuni ezaweebwa eddimu ery’okubunyisa amasanyalaze olwengeri gyeziwanikamu emiwendo gyamasanyalaze wagula neziremesa Eggwanga okutuuka ku kirubirirwa kyalyo.
Pulezidenti bino yabyogeredde Kikagati-Murongo mu Disitulikiti y’e Isingiro bweyabadde aggulawo ebibiro ly’amasanyalaze erya Kikagati-Murongo Hydro Power Plant nga lino lya kufulumya amasanyalaze agaweza mega watts 14 okwongereza kwago getulina mu Ggwanga nga ebibiro lino, lyawemmense ensimbi million 100 eza ddoola za America.
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yasinzidde wano nategeeza nga abantu be naddala ab’amakolero bwebanyigirizibwa olw’emiwendo egiri waggulu bwatyo kwekusaba bekikwatako okusala ku bbeeyi ya unit okuva ku cent 8 okutuuka ku cent 5 nagamba nti singa gabeera ku bbeeyi eyo wakiri Bannamakolero babeera bajja ku kulaakulanya Eggwanga ate nga nabo tebanyigiriziddwa.
Ye Minisita avunaanyizibwa ku bya masanyalaze n’obugagga obwensibo Dr Hon. Ruth Nankabirwa Ssentamu yategeezezza nga bwebatandise okugenda nga batongoza ebifo eby’enjawulo ku bibiro lya masanyalaze elya mega watts 600 erya Karuma Hydro power plant nga wano akakasiza nga Karuma Unit one ne Unit four bwebaamaze edda okuzigezesa .
Omukolo guno gwetabiddwako ne Pulezidenti wa Tanzania H.E Samia Suhulu Hassan nga Ono yatenderezza omulimu ogwakoleddwa nategeeza nga kati ebyensubulagana wakati w’amawanga gano gombiriri bwebigenda okuyitimuka wamu nokwongera okunyweza enkolagana y’amawanga gombiriri.