Kkooti egobye ogwa Mabiriizi gweyawawabira Bobi Wine

Kkooti ya Law Development Center mu Kampala yavuddeyo nekikaatiriza nga bwekiriziganya nokusalwo kwa Director of Public Prosecutions (DPP) okujja enta mu musango ogwokujingirira ebiwandiiko okusobola okuwandiisibwa mu Makerere University ogwali guguddwa ku mukulembeze wa National Unity Platform Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine .
Male Mabiriizi Kiwanuka yeyatwala Mw. Kyagulanyi mu Kkooti ya Law Development Centre mu Kampala mu September 2021 nga agamba nti yali tatuukiriza bisaanyizo okwewandiisa okuyingira mu Makerere University okusoma Diploma mu Dance and Drama ku mature age entry when.
DPP nga 7 October omusango yagwezza nga yeyambisa akawayiiro 120 mu Ssemateeka wa Uganda mwamuweera obuyinza okwezza omusango gwonna ku mutendere gwonna kwegubeera.
Leave a Reply