Kkooti egobye okujulira kwa Mukesh ku Ssenyonyi

Kkooti Ejulirwamu mu Kampala olunaku olwaleero ekakasizza Munnakibiina kya National Unity Platform Joel Ssenyonyi ng’omubaka wa Nakawa West omulonde oluvannyuma lwokugoba okujulira kw’Omusuubuzi Shukra Mukesh nga kigambibwa nti okujulira kuno yakuteekayo ng’obudde buyise. Kkooti eragidde Mukesh okusasula ensimbi zonna ezikozeseddwa mukujulira kuno.

Leave a Reply