Kkooti ejjulirirwamu olunaku olwaleero eyimbudde omukulembeze w’ekiwayi ky’Abatabuliiki Amir Ummah Shiekh Muhammad Yunus Kamoga eyali asaliddwa ekibonerezo eky’okusibwa amayisa olw’okwogera ebigambo ebyaviirako okutibwa kwaba Sheik banne babiri okuli; Mustafa Bahinga ne Hassan Kirya mu 2014.
Ono yajeerezeddwa oluvannyuma lw’abalamuzi 3 okuli Ssaabalamuzi eyakalondebwa Alfonse Owiny – Dollo, Elizabeth Musoke ne Cheborion Barishaki okukyuusa okusalawo kwa Kkooti Enkulu eya International Crimes Division nga egamba nti Kamoga ne banne abalala 5 basalirwa emisango nga bisigamye ku ‘verbal Terrorism’.
Okusinziira ku balamuzi bano 6 basalirwa emisango nga tewali bujulizi nti ebigambo byebayogera byalimu obubaka obukuma omuliro mu bantu okutta ba Bahiga ne Kirya.
Abalamuzi bagamba nti wadde bano bandiba balina entalo z’ebigambo ne ba Shiek abatibwa, obubaka bwabwe eri Abasiraamu bwali bunyiga Bahiga, Kirya ne Muhammod Kibaate n’abalala bwali bwa Ddiini.
Abalala abataano kuliko; Siraje Kawooya , Yusuf Kakande, Multabh Bukenya , Abdul Slaam Ssekayanja ne Fahad Kalungi .
Wabula bano babadde tebaleeteddwa mu kkomera olw’ebiragiro ebiggya kukutambuza abasibe olw’ekirwadde kya #COVID-19. Bannamateeka baabwe bagamba nti bagenda kulindirira okufuna ebiragiro okuva mu ba Shiek balabe oba bawawabira Attorney General okubaliyirira.