Kkooti Ejulirwamu akakasizza Omubaka Ssekabira

Abalamuzi 3 aba Kkooti Ejulirwamu mu Kampala basizza kimu ng’enkuyege nebakakasa Omubaka Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Denis Ssekabira ng’omubaka wa Katikamu North omulonde. Gaddafi Nasur Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM yali yaddukira mu Kkooti Ejulirwamu ng’awakanya ensala ya Kkooti Enkulu mu Kampala okuwa Ssekabira obuwanguzi mu musango mweyali awakanyiza okulondebwa kwe. Ssekabira ne munnamateeka we Luyimbazi Nalukoola bategeezezza nti sibakusonyiwa Nassur olw’okuboononera obudde era baagala abaliyirire bunnambiro ensimbi zonna zebasaasanyizza mu musango guno nga Kkooti bweragidde.

Leave a Reply