Kkooti enkulu ejulirwamu egobye omusango gwa Male Mabirizi gweyawawabira Ssaabasajja nga ayagala amuliyirire obuwumbi 22.
Bino webijjidde nga kkooti yakizuula dda nti emisango gya Mabirizi gyeyawaaba yali talina ntobo kwayimiridde kuwaabira Kabaka nga amuvunaana olw’abantu abali ku ttaka nga agamba nti Ssaabasajja abanyigiriza nga abawaliriza okwewandiisa n’okubajjako ensimbi nga ayita mu nkola ya kyapa mu ngalo.
Kkooti era yakizuula nti Mabirizi talina lukusa ku lw’abantu abali ku ttaka ate naye talina nsonga zimukwatako nga omuntu kubanga yalemererwa okulaga kkooti omusango ogulimu omuzinzi gwavunaana Ssaabasajja era kkooti esinzidde wano negoba omusango gwe.
Mabirizi yali yafuna ekiragiro ekiwaliriza Ssaabasajja alage ebyapa bye bank accounts. Beene yajulira mu kkooti enkulu nga asaba okusazaamu ekiragiro ekyo.
Kkooti nga zimaze okusalawo okugoba emisango gya Mabirizi, Mabirizi yagenda mu maaso nateekayo okusaba engassi ya buwumbi 22.
Omusango bwegwajja mu kkooti enkulu, ba looya ba Kabaka baakaga nti kivoola amateeka omuntu aleese omusango neguzuulwa nti tegulina ntobo wadde ekinyusi, ate okukkkirizibwa okugugunamu ebibala.
Kkooti ekiraze nti omusango omukulu bweguba gugobeddwa n’ebiragiro ebyalimu engassi ebyajja nga omusango tegunnamanyibwa nti tegulina muzinzi, byonna bifiira ku musango ogwo omukulu gwebagobye.
Okusinziira ku Ssaabawolereza wa Buganda Owek Christopher Bwanika, agamba nti kkooti ekiragiro kyekoze kiraga nti obusangosango bwonna Mabirizi bweyali aleese nga asaba Kabaka amuliyirire kkooti enkulu ekirungamizza bulungi nti Mabirizi talina bwayinza kufuna bibala byonna ku musango guno.
Agasseeko nti singa kkooti enkulu yakkiriza Mabirizi aliyirirwe, kkooti yandifuuse kisekererwa kubanga emisango mingi kkooti gyerina okukolako egisinga egya Mabirizi obunene.
Kkooti eragidde Mabirizi aliyirire Ssaabasajja ensimbi zasaasaanyizza mu musango guno