Munnakibiina kya Forum for Democratic Change – FDC Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye olunaku olweleero aleeteddwa mu Kkooti Enkulu okuwulira okujulira kwe kweyateekayo nga awakanya ekyosasula obukadde 30 nga akakalu ka Kkooti ekiragiro ekyaweebwa Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road wabula ye nakiwakanya.
Omulamuzi wa Kkooti Enkulu Michael Elubu ategegeezezza nti ekiragiro ekyaweebwa omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road kyali kikambwe nnyo bwokigeraageranya ku musango gweyazza ogwokukuma mu bantu omuliro nga ekibonerezo kyago bweguba gukusinze kibeera kusibwa myaka 3 oba okuwa engasi ya kakadde kamu mu emitwala 44 (1.44M) nga kino kifuula ensimbi za kakalu ka Kkkoti okulabika nga ekibonerezo so nga ekiziteesaawo kwekulaba nti omuntu ayimbuddwa alabikako mu Kkooti.
Omulamuzi ayongeddeko nti abantu Besigye beyakwatibwa nabo ku musango gwegumu bayimbulwa ku kakalu ka Kkooti akatali kabuliwo nga ate ye Ddereeva we yalagirwa kusasula kakadde kamu. Omulamuzi Elubu alagidde Besigye okusasula obukadde 3 ezobuliwo sso ssi bukadde 30.