Kkooti enkulu etumizza Kabaziguruka

Kooti enkulu mu Kampala eragidde akulira ekkomera ly’e Kigo aleete Omubaka mu Palamenti owa Nakawa Micheal Kabaziguruka eyatwalibwa mu nkomyo  gyebuvuddeko alabikeko mu kkooti nga 26 Agusito ayeerwaneko mu kusaba kwe ng’ awakanya okuwozesebwa mu kkooti y’ekinnamagye .

Ekiragiro kino kifulumiziddwa Omulamuzi Patricia Wasswa oluvannyuma lwa munnamakteeka wa Kabaziguruka Ladislaus Rwakafuuzi okumutegeeza nti kyetaagisa Kabaziguruka okubaawo neyetaba butereevu mu nsonga eno .

Kabaziguruka ayagala omulamuzi awe ekiragiro ekigaana kkooti y’ekinnamagye okumuwozesa ssaako n’okumuta alye butaala kubanga agamba nti ye muntu wa bulijjo atalina kuwozesebwa mu kkooti eno .

Kinajjukirwa nti  mu mwezi ogwayita  Kabaziguruka yateekayo okusaba kwe eri kkooti enkulu nga yeemulunnya nti ayinza obutafuna mazima na bwenkanya mu kkooti y’ekinnamagye eno gy’agamba nti teyeetengeredde n’akatono era etambulira ku ntoli za Pulezidenti Museveni .

Wabula lwo oludda oluwaabi nga lukulirwa akulira okuwaaba emisango mu UPDF, Lt. Col . Moses  Wandera agamba nti kooti eno yeetengeredde awatali kutaataganyizibwa Pulezidenti era ekulirwa omuntu ali ku ddaala eritakka wansi wa Lt . General .

Wandera ayongerako nti Pulezidenti talina buyinza bwonna ku kkooti eno ey’ekinnamagye era ssi mmemba n’akatono .

 

 

Leave a Reply