Kkooti Enkulu leero lwesuubirwa okutandika okuwulira ogwaba NRM

Olunaku olwaleero Kkooti Enkulu mu Kampala lw’esuubirwa okutandika okuwulira omusango Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM 23 gwebaatwalayo nga bawakanya ekyasalibwawo olukiikoi lw’ekibiina olwokuntikko okuddamu okuwa bendera ababaka ba Palamenti y’Obuvanjuba bwa Afirika (EALA) abaliyo mu kulonda okuddako.
Okusinziira ku bano, bagamba nti kino sikyabwenkanya, kimenya amateeka era kyabusosoze. Kinajjukirwa nti abaali begwanyiza okukwatira NRM bendera ku bifo bino baali basoba mu 100.
Leave a Reply