Kkooti Ensukkulumu mu Kampala egaddwawo okumala ebbanga eritali ggere okusobozesa abakola ku kunoonyereza okunoonyereza ekyaviirako omuliro ogwakwata ekizimbe kweri nga 26 – April.
Ebintu ebiwerako byayonoonebwa omwali ne ofiisi ya Ssaabalamuzi. Ekiragiro kino kiweereddwa Ssaabalamuzi yennyini Alfonse Owiny-Dollo.