Kkooti eragidde Gavumenti okuliyirira Maama gwebattira omwana mu kwekalakaasa

Omulamuzi wa Kkooti Enkulu mu Kampala Musa Ssekaana alagidde Gavumenti okuliyirira omukyala Hajara Nakitto eyafiirwa omwana we mu kwekalakaasa okwaliwo mu November 2020 obukadde 50.
Omulamuzi Ssekaana yategeezezza nti okufa kw’omwana ono kumenya mateeka era nga kuggyibwako eddembe ly’obulamu mu ngeri ey’ekimpatiira, Bwatyo nategeeza nti Gavumenti yabadde erina okusasulira ebikolwa byayo.
Nakitto yavaayo nawawabira Ssaabawolereza wa Gavumenti nga agamba nti Mutabani we Amos Ssegawa yakubwa amasasi nga 19-November 2020 abasirikale ba Uganda Police Force n’abeggye lya UPDF bwebakuba amasasi mu bantu nga bagezaako okukkakanya obujagalalo obwali buva ku kukwatibwa kwa Pulezidenti wa National Unity Platform – NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine mu Disitulikiti y’e Luuka.
Gavumenti yavaayo netegeeza nti abantu 54 bebafiira mu kwekalakaasa kuno okwamala enaku 2 era Pulezidenti Museveni navaayo neyeyama okuliyirira abafamire z’abantu abo abattibwa singa kyali kikakasiddwa nti baali tebekalakaasa.
Museveni yategeeza nti 32 ku battibwa baali bekalakaasa so nga 22 tebalina musango battibwa mu butanwa. Nakitto, nga mutuuze mu Kinoni Town Council mu Disitulikiti y’e Lwengo yategeeza Kkooti nti mutabani we eyali mu Siniya eyookubiri ku Lubiri High School mu Kampala, yakubwa abasirikale abaali mu yunifoomu y’eggye lya UPDF.
Leave a Reply