Kkooti eragidde okulonda kwa Ssentebe wa Disitulikiti y’ e Kalungu kuddibwemu

Kkooti ejulirwamu eragidde akakiiko k’ebyokulonda okuteekateeka okulonda okuggya okw’ekifo kya Ssentebe wa Disitulikiti y’ e Kalungu

Kino kiddiridde abalamuzi abasatu abatuula ku kkooti eno okuli amyuka Sssaabalamuzi Steven Kavuma, Elizabeth Musoke awamu ne Paul Mugamba okukkaanya n’ekyasalibwawo kkooti enkulu e Masaka okuva eri omulamuzi Lawrence Gidudu eyasazaamu okulondebwa kwa munnakibiina kya NRM Richard Kyabaggu.

Emmanuel Musoke owa DP yali yavaayo n’awakanya okulondebwa kwa Kyabaggu era bwatyo n’addukira mu kkooti ejulirwamu oluvannyuma lwa kkooti enkulu e Masaka okugaana okusaba kwe nga yali yasaba kkooti eno okumulangirira singa EBA esazizzaamu munnakibiina kya NRM Richard Kyabaggu.

Abalamuzi bano abasatu bakkaayizza nti empapula zi DR Forms ezalangirirwako Kyabaggu zaali tezisayiningiddwako kakiiko ka byakulonda.

Leave a Reply