Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Ronald Kayizzi alagidde Poliisi y’Ensi yonna Interpol okukwata Pulezidenti w’Ekibiina ekitaba Bannamateeka mu Ggwanga ekya Uganda Law Society Isaac Ssemakadde.
Ono avunaanibwa omusango gwokukozesa ebigambo ebigambibwa nti byali biremgezza DPP Jane Francis Abodo.