Kooti ekola ku misango gy’ensi yonna etaddeewo nga ennaku z’omwezi 4 Kafuumuulampawu omwaka guno nga kwegenda okuweera ensala yaayo oba abantu 14 abateeberezebwa okwekobaana nga baliko kyebamanyi ku bayisiraamu abazze batirimbulwa, beewozaako oba nedda.
Olunaku luno lulangiriddwa abalamuzi abakulembeddwamu Omulamuzi Ezekiel Muhanguzi nga lulangiriddwa enkya ya leero oluvannyuma lwa kkooti okumatizibwa oludda oluwaabi ne ba puliida b’abawawaabirwa nti ensonga eno erimu eggumba.
Abantu abawawaabirwa mulimu akulira ekiwayi ky’abatabbuliiki mu ggwanga, Sheikh Yunus Kamoga nga yaakulembeddemu banne nga bateebererezebwa okubaako kyebamanyi ku ba maseeka abazze battibwa omuli Sheikh Hassan Kirya ne Sheikh Mustafa Bahiga nga bano battibwa mu 2014 ne 2015.
Era abantu bano bawerennemba n’emisango emirala egyekuusa ku bikolwa ebyobutujju n’okugezaako okutemula Sheikh Haruna Jjemba.