Kkooti eyisizza ekiragiro ekikwata Molly Katanga

Omulamuzi wa Kkooti ya Nakawa Elias Kakooza azzeemu nayisa ekibbaluwa kibakuntumya ekirala eri Molly Katanga oluvannyuma lwokulemererwa okulabakiko mu Kkooti emirundi egiwerako ku musango gwokuttemula bba Katanga.
Omulamuzi alagidde Uganda Police Force okukwata Molly Katanga obutassukka nga 12/Feb/2024 nategeeza nti ebiwandiiko bye Ddwaliro ebireeteddwa Bannamateeka be tebimatiza.
Kakooza ategeezezza nti Molly Katanga nebwaba mulwadde Kkooti wamu n’ekitongole kyamakomera birina obusobozi okulabiria obulungi omuntu omulwadde nti era asobola okweyambisa ensonga yobulwadde okusaba okweyimirirwa okuva mu Kkooti Enkulu.
Molly Katanga kigambibwa nti yatwalibwa mu Ddwaliro lya IHK nga 2 – November 2023 okujanjabwa ebisango byagamba nti yabifuna bba Henry Katanga lweyakubwa amasasi agamuttirawo.
Molly yetaagibwa yegatte ku bawale be Nkwanzi Katanga ne Patrica Kakwenza abasindikiddwa mu KKooti Enkulu okuvunaanibwa olwokwenyigira mu kutta kitaabwe nga 2/November/2023 mu maka gaabwe agasangibwa ku Chwa II Road e Nakawa. Bano okusindikibwa mu Kkooti Enkulu kidiridde Poliisi okutegeeza nti emalirizza okukola okunoonyereza.
Leave a Reply