Kkooti mu Sudan yejjuludde ku kibonerezo eky’okufa

Kkooti mu Sudan kyaddaaki yejuludde ku kibonerezo kyeyali ewadde Omuwala Noura Hussein agambibwa okutta omusajja gwebaali bamufumbiza ku myaka 16 lwa kumusobyako. Ono agamba nti omusajja yamutta mu butanwa bwe yali amwetaasaako olw’omusobyako nga yali tanetuuka songa bazadde be baali bamuwaddeyo afumbirwe.

Kkooti yamuwadde ekibonerezo kyakusibwa emyaka 5, Lawyer we Al-Fateh Hussein yagambye nti ekibonerezo kye kitandika okubalibwa okuva lweyakwatibwa era nga wakuwa n’engasi Pound za Sudan 337,500 ($12,000).

Hussein 19, abadde mu kkomera ly’abakyala okuva nga May 2017, era nga yali yafumbizibwa Abdulrahman Hammad, omwali n’okukola endagaano wakati wa Taata we n’omusajja era mu April 2017, yakakibwa okugenda mu maka g’omusajja ono nga yakamaliriza okusoma Secondary.

Kigambibwa nti oluvannyuma lw’okumma omwami akaboozi, omusajja yayita banne abalala bamuyambeko era abasajja basatu bamukwata omwami namusobyako nga 2 May 2017. Enkeera yagezaako okuddamu okumukwata wabula namwesimatulako nadduka mu ffumbiro gyeyafuna akambe namusalasala ebiwundu ebyamaanyi ebyamuviira okufa, Hussein yaddukira ewaabwe wabula Kitaawe namuwayo ku Poliisi.

Okuva lweyasalirwa ogw’okufa ebitongole eby’enjawulo ebirwanirira eddembe bibadde byavaayo okuvumirira ensalawo ya Kkooti.

 

Leave a Reply