Kkooti etaputa ssemateeka eyongezzayo okuwulira omusango gw’omubaka wa Palamenti Fox Odoi Oywelowo akiikirira West Budama ne banne gwebawaaba nga bawakanya engeri etteeka erikugira omukwano ogw’ebikukujju gyelyayisibwamu. Ssaabawolereza wa Gavumenti nga ye muwawabirwa mu musango guno, wamu n’abawaabi, balabiseeko mu maaso g’omuwandiisi wa Kkooti, Suzanne Annyala Okeny olwaleero okukkanya ku lunaku lw’okutandika okuwulira omusango guno. Bano basabiddwa okuwaayo empapula eziraga byebakkanyizzaako obutasukka nnaku za mwezi 12 omwezi guno omusango nga tegunnaweerezebwa eri abalamuzi abaguli mu mitambo.