Omubaka akiikirira Busiro East Medard Lubega Sseggona atabukidde abakungu okuva mu ssiga eddamuzi; “Bakuleetera omuntu nga bamutulugunyizza atonyolokoka musaayi n’omusindika ku alimanda mu kkomera! Notalagira n’abamakomera kugenda bamukuumira mu ddwaliro. Wabula n’olagira bulagizi nti bamutwala e Luzira. Wano ku mulirwano e Kenya, Bannakenya bayokya Palamenti. Tetwagala kulaba Bannayunganda nga bookya Kkooti. Lwaki? Kuba ekitiibwa kya Kkooti bwekitandika okubuusibuusibwa tuba tulu mu buzibu bwennyini kuba omuntu eyanditutte mu kkooti ajja kusalawo kukozesa jjambiya!”
#ffemmwemmweffe
Kkooti ya Uganda eweddemu ensa – Medard Sseggona
