Kkooti y’amaggye etuula e Makindye nga ekulemberwa Lt. Gen. Andrew Guti olunaku olwaleero esingisizza omukuumi w’omuyima wa Boda Boda 2010 Abdalla Kitatta Dect. Constable Sowali Ngobi omusango gw’okusangibwa n’emmundu ezitamuweebwa mu mateeka okwali SMG wabula namwejeereza ogw’okusangibwa ne Pistol eyamuweebwa Poliisi ya Yuganda ne Ddereeva wa Kitatta Sekajja Ibrahim naye asingisiddwa emisango gyegimu.
Kkooti yemu era esingisizza Hajji Abdalla Kitatta omusango gw’okusangibwa n’emmundu nga talina biwandiiko byayo (Valid License).
Bammemba ba Kkooti eno 7 nga bakulembeddwamu Lt. Gen. Andrew Guti bakiriziganyizza bukuyege nti obujulizi obwaleetebwa abajulizi 4 bwali bumatiza Kkooti okulumika Kitatta, Ddereeva we Ibrahim Ssekajja n’omukuumi we Sowali Ngobi.
Wabula era ekkooti y’emu yejeerezza banne ba Kitatta 7 ababadde bavunaanibwa ogw’okusangibwa n’ebyambalo by’amaggye n’enkofiira olw’oludda oluwaabi okulemererwa okuleeta obujulizi obumala.
Bano bateereddwa oluvannyuma lw’emyezi 15 gyebamaze ku alimanda e Luzira.
Ye Munnamateeka wa Kitatta Shaban Sanywa asabye Kkooti okubeera ey’ekisa eri abavunaanibwa ebawe ekibonerezo ekisaamusaamu lwakiri basibirwe waka nga agamba nti abavunaanibwa eyabawa emmundu teyatuukiriza buvunaanyizibwa bwe kubawa biwandiiko byazo, balina abantu bebalabirira nga ate bato balina okusoma. Ayongeddeko nti okugeza Kitatta alina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu Ggwanga nga ye Ssentebe wa National Resistance Movement – NRM mu Lubaga.
Kkooti yakuddamu ku lw’okubiri wiiki ejja okuwa ekibonerezo eri abasingisiddwa emisango.