Kkooti Enkulu etuula mu Kampala yamalirizza okuwulira omusango gw’okutta eyali Omusirikale wa Uganda Police Force ASP Muhammad Kirumira ne Resty Nalinnya oguvunanibwa Abubaker Kalungi.
Omulamuzi kati alindiridde kufuna kuwabulwa okuva eri abayambi ba Kkooti eno ababaddewo ngomusango guno guwulirwa nga 24 March olwo alyoke awe ensala ye.