Kkooti y’e Matugga esindise ab’oluganda 3 mukomera lwabubbi

Akbaluh 28, Ashraf Matovu 32 ne Ramathan Matovu 23 basindikiddwa kkooti mu kkomera e Luzira lwakubba kkampuni ya Everyday Biscuits Factory esangibwa e Mattuga.

Bano abasatu ku ssaawa nga munaana ogw’ekiro nga 17-june befuula abaguzi ba Scrap nebayingira ekkolero lya Everyday Biscuits nebakuba abakuumi ba kkampuni ya Securex ne babatwalako emmundu.

Bano bamenya office yavunaanyizibwa ku by’ensimbi nebabba obukadde 54, bagenda ne kunnyumba nebasiba abakozi bonna nebababbako ebintu byabwe omuli laptops, amasaawa, amasimu, hard drives, TV ku mudumu gw’emmundu.

Poliisi yayitibwa wabula egenda okutuukawo nga badduse. Poliisi yatemezebwako nga bano bwebaali bolekedde Bwaise era nebatemya ku banaabe abasuula emisanvu nebabakwata.

Emmundu z’abasirikale ba Securex zasangibwa zisuuliddwa mu kasiko akalinaanye ekkolero lino ku makya. Akulira Poliisi mu kitundu agamba nti abasirikale ba Securex balina emmundu naye nga temuli masasi ekyali eky’obulabe ennyo.

Leave a Reply