Kooti esalawo nkya ku kweyimirirwa kwa Besigye .

Omulamuzi Wilson Masalu Musene waakuwa ensala ye enkya ku lwokubiri nga 12  ku kusaba kwa Dr. Kizza Besigye kweyateekayo  okweyimirirwa okuva ku Meere e Luzira . 

Kino omulamuzi okituuseeko oluvannyuma lw’okuwuliriza enjuyi zombi olwa Besigye nga ayita mu munnamateeka we Ernest Kalibbala n’oludda oluwaabi olukuliddwamu omuwabi wa Gavumenti Florence Akello enkya ya leero mu kooti enkulu mu Kampala .

Besigye yasindikibwa e Luzira ku alimanda omulamuzi wa Kooti e Nakawa mu Mayi w’omwaka guno nga 18 nga avunaanibwa emisango gy’okulya mu nsi ye olukwe  . Wabula Besigye nga ayita mu munnamateeka we Ernest Kalibbala  yateekayo okusaba kwe okweyimirira nga asinziira ku kuba nti aweza emyaka 60 , engeri gy’abadde yeeyisaamu wamu n’okuba nti alina abantu abasobola okumweyimirira nga baabuvunaanyizibwa .

Mu bano mulimu Pulezidenti wa FDC , Maj. General Mugisha Muntu, Ssaabawandiisi wa FDC Nathan Nandala Mafabi, Meeya w’eggobolola y’e Lubaga , Joyce Ssebuggwawo, omubaka wa Palamenti owa Municipali ye Rukungiri, Roland Kaginda .

Wabula omuwaabi wa Gavument, Florence Akello asabye kooti egobe okusaba kuno nga agamba nti omusngo oguvunaanibwa Col. Besigye ogw’okulya mu nsi olukwe musango munene oguyinza n’okuwanisa omuntu ku kalabba .

Ayongerako nti Besigye bwali munnabyabufuzi bw’ateebwa ku kakalu ka kooti asobola okutaataaganya okunoonyereza , waakuddamu ebikolwa bye eby’obujeemu .

Akello ayongeddeko nti ekya Besigye okuba n’emyaka 60 ssi nsonga nkulu nnyo eyesigamibwako okumukkiriza okweyimirirwa . Takomye okwo n’asaba n’obukakafu obulaga nti ddala Besigye alina emyaka 60 .

Wabula Akello asabye kooti eteerewo Besigye obukwakkulizo obukakali singa eba emukkirizza okweyimirirwa .

 

 

Leave a Reply