Ku kya Nalukoola okulayira nkyalinda EC – Sipiika Among

Sipiika wa Palamenti Anita Among avuddeyo nategeeza Palamenti nti ekirwisizza okulayira kw’Omubaka omulonde owa Kawempe North Elias Luyimbaazi Nalukoola Munnakibiina kya National Unity Platform kwekuba nti tanafuna ‘gazette’. Sipiika atangazizza nti omuntu bwawangula alinda erinnya lye okufulumira mu ‘gazette’ olwo nalyoka alayira nti wabula Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda abadde tanawuliza kuva gyekali.
Leave a Reply