Kyaddaaki eggye ly’Eggwanga erya Uganda People’s Defence Forces (UPDF) ligenda kuwumuzza ba General 17 nga muno mulimu neyali akwanaganya ebitongole ebikettera munda mu Ggwanga Gen. David Sejusa, kino kyakubaawo mu July 2019. Guno gwegunda okubeera omulundi ogusooka okubeeramu abasirikale abali wagulu w’eddaala lya Brigadier okuwummuzibwa omulundi ogumu.
Omumyuka w’omwogezi w’amaggye Lt. Col. Deo Akiiki yavuddeyo nategeeza nti kino kyabulijjo okuwummuza abasirikale era nakakasa nti Gen. Sejusa naye kwali kwabo.
Mu bagenda okuwummuzibwa kuliko Lt. Gen. Ivan Koreta eyaliko omumyuka w’omudduumizi w’eggye ly’Eggwanga era nga y’omu ku basirikale 4 kw’abo 27 abatendekebwa ne Pulezident Museveni mu 1976 e Mozambique okulwanyisa Idi Amin, akiikirira amaggye mu Palamenti, Lt. Gen. Joram Mugume akulira akakiiko k’etaka ly’Amaggye mu Minisitule y’ebyokwerinda, Maj Gen Nathan Mugisha, amyuka Ambassador wa Somalia, Maj Gen Sam Turyagyenda eyali omudduumizi w’eggye ly’omubbanga, Brig Ramadan Kyamulesire, ono nga yakulira ekitongole ky’amateeka ekya UPDF, Brig Timothy Sabiiti Mutebile, akulira ekitongole kya UPDF ekizimbi, Brig Charles Angulo Wacha, UPDF Director of Human Rights, Brig Sam Kakuru, Deputy Chief of Personnel and Administration, Brig Mathew Ssewankambo, Brig. Jimmy Wills Byarugaba, Brig Sam Wasswa Mutesasira, Brig Gyagenda Kibirango, Brig Tom Tumuhairwe, Ambrose Musinguzi, Brig Mulondo, Brig John Mulindwa.
Lt. Col Deo Akiiki agamba nti oli okuwummuzibwa mu maggye kisinziira ku myaka, eddaala lye mu maggye wamu n’emyaka gy’abadde mu maggye.