Abantu ba Ssaabasajja Kabaka okuva mu Gombolola ez’enjawulo ezikola essaza lye Kyaddondo ne Kyaggwe, bakiise embuga mu nkola ya Luwalo Lwaffe nebagula satifikeeti za bukadde obuweredde ddala asatu mu busatu (33m).
Amagombolola agakiise kuliko;
Ssaabaddu Kira 8,370,000
Ssaabagabo Lufuka. 14,185000
Mutuba II Nabweru 2, 8950,00
Mutuba IX Goma 6,290,000
Mutuba III Kyampisi 1,600,000
Nga ojjeko amagombolola, n’amasomero nago gatambulidde wamu mu nteekateeka eno, nekuluno gazze mangi era gaguze satifikeeti eziwera.
Bwabadde abatikkula kulwa Katikkiro, Minisita w’ettaka obulimi, obutonde bwensi, n’obwegassi, Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, alaze obwennyamivu olw’ettemu erisusse mu ggwanga, naasaba abantu berwaneko nga bayita mu nkola ya ggwanga mujje okusobola okukendeeza obumenyi bw’amateeka.
Owek Mariam ayagala obwakabaka buzzeewo ekitongole kya Kabaka ekikessi ekyaliwo edda, Ssaabasajja mweyayitiranga okumanya embeera nga bweri mu bantube. Asabye abaami b’amagombolola okubiriza abantu obutamalaawo butonde bwensi baddeyo ku nnono zaabwe kubanga buli kimu kyakolebwa nga kirina okubezaawo ensi yaffe mu mbeera gyetwetaaga.
Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu, Owek Joseph Kawuki, akubirizza abantu okumanya obukulu bwamasaza gaabwe nga bazzaawo ebyo ebyayitimusa Buganda omuli obutonde bwensi, obukozi, okunyweza ebyobuwangwa, okuleeta emiti emito embuga, okwekkiririzaamu. Era abasabye bongere okunoonya abantu ba Kabaka yonna gyebali, babasembeze kumpi ne Kabaka, okubaagazisa n’okubannyikiza mu mirimu gy’obwakabaka, okwogerera obwakabaka baleme kutuwangula olwo Buganda tujja kujizza ku ntikko.
Wonna awamu amagombolola galeese oluwalo lwa bukadde 33, 340,000.