KYAGULANYI YALINA OKUKIRIZIBWA OKWONGERA OBUJULIZI – Justice Kisaakye

KYAGULANYI YALINA OKUKIRIZIBWA OKWONGERA OBUJULIZI;
Omulamuzi Dr. Esther Kisaakye avuddeyo nategeeza nga bwatakiriziganya n’abalamuzi 8 nti Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine yali talina kuzza buggya bujulizi bwe. Kinnajjukirwa nti yali amaze enaku 10 nga asibiddwa ewuwe nga tebamukiriza kwogerako na Bannamateeka be okusobola okussaayo omusango gwe mu budde.
Ono agamba nti Amama Mbabazi mu 2016 yakirizibwa okuzza obuggya omusango ggwe.
Dr. Kisaakye agamba nti era takiriziganyizza nakugaama Kyagulanyi kusaba Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni kuddamu kwesimbawo nga bagamba nti eno nsonga mpya nategeeza nti ensonga ya Ssemateeka esobola okuwakanyizibwa nga okulonda tekunabaawo, wakati mu kulonda oba nga kuwedde oluvannyuma lw’enaku 15.
Leave a Reply