Hajji Hussein Kyanjo ng’ono yaliko Omubaka wa Makindye West mu Palamenti addusiddwa mu ddwaliro e Buyindi okujjanjabibwa kkookolo famire ye gw’ebadde temanyi nti amulina.
Omu ku bamuli ku lusegere, Imaam Kasozi yategeezezza nti Hajj Kyanjo yaddusiddwa mu ddwaliro okutaasa obulamu bwe era n’asaba eggwanga okwongera okumusabira akomewo mirembe.
Hajj Isaac Kiggundu naye omu ku mikwano gya Hajj Kyanjo yakakasizza nga Kyanjo bwe yazuuliddwamu Kookolo ali ku siteegi esembayo ng’era yeetaaga obuyambi obuwerera ddala okusobola okumutambuza ne Mukyala we okugenda okujjanjabibwa.
“Tusabire muganda waffe assuuke mangu. Enteekateeka zigenda mu maaso okumutwala e Buyindi okujjanjabibwa era nsaba tukwatire wamu okuwaayo ku nsonga eno. Alina okugenda ne mukyala we era okuwaayo kwonna kwanirizibwa, Hajj Kiggundu bwe yategeezezza mu bubaka bwe ku nsonga eno.
Okusinziira ku nsonda ezeesigika, Hajj Kyanjo yazuulwamu Kkookolo mu makkati g’omwezi oguwedde era abadde atawanyizibwa okwenyika kw’emmeeme n’ebirowoozo (depression) oluvannyuma lw’okufiirwako mukyala we omuto.