Layini z’amasimu ezitali mpadiise zisalweko – Poliisi

Poliisi ya Yuganda eyagala ekitongole ekivunaanyizibwa ku byempuliziganya mu ggwanga ekya Uganda Communications Commission kisaleko layini z’amasimu ezitali mpandiise kubanga kyekimu ku biviiriddeko obumennyi bw’amateeka wamu n’obutali butebenkevu  obukudde ejjembe mu ggwanga .

Bwabadde  mu lukungaana lwa bannamawulire olubeerawo buli wiiki ku kitebe kya Poliisi e Naguru mu Kampala, Asan Kasingye omwogezi wa Poliisi ategeezezza  nti bangi ku bazzi b’emisango bakozesa layini z’amasimu ezitali mpandiise nebabba abantu oluusi n’okubatta, ekitali kyangu n’akatono okuzuula abantu bwebati bavunaanibwe.

Kinajjukirwa nti mu mwaka gwa 2013 Gavumenti bweyayisa ekiragiro ky’okuwandiisa buli layini nga eyita mu mikutu gy’amasimu egy’enjawulo , UCC n’etiisatiisa okusalako buli layini etali mpandiise naye byonna byakoma mu kwogera.

Kasingye bino abyogedde nga yeekuusa ku butemu obwakebwa ku eyali omwogezi w’ekitongole kya Police AIGP Andrew Felix Kaweesi eyakubwa amasasi n’afiirawo  gyebuvuddeko okuliraana amakage agasangibwa e Kulambiro .

 

Leave a Reply