Olunaku lwaleero lwegiweze emyaka 40 bukyanga Gavumenti ya Idi Amin Dada evunikibwa so nga ne mu Sudan enkya yaleero omukulembeze abadde amaze emyaka 30 ku bukulembeze Omar Al-Bashir alekulidde.
Nga 11-April-1979, Lieutenant Colonel David Oyite Ojok (RIP) yalangirira ku Leediyo y’eggwanga ‘Radio Uganda’ nga Gavumenti ya Idi Amin (RIP) bweyali ewambiddwa.
“Bannayuganda banange, ku lwa Uganda National Liberation Front, mbaleetedde amawulire amalungi! Obukulembeze bwannakyemalira Idi Amin bukomezeddwa olwaleero. Tusaba Bannayuganda mwenna okusigala nga muli bakkakamu nga bwetutereeza ebintu. Tusaba abasirikale bonna ababadde bakolera Gavumenti okudda mu nkambi ez’enjawulo gyebalina okubeera okwetoloola eggwanga lyonna. Yuganda kati erimu eddembe.
Bino mbyogera ku lwa Katonda n’Ensi yange”
Maj. Gen. David Oyite Ojok (15 April 1940 – 2 December 1983) bwatyo yafiira mu kabenje k’ennyonyi namunkanga ku myaka 43 era nga yeyali akolanga National Army Chief of Staff.